http://www.klarchdiocese.org.ug/images/sampledata/home/slide3.jpg.jpghttp://www.klarchdiocese.org.ug/images/sampledata/home/sliide1.jpghttp://www.klarchdiocese.org.ug/images/sampledata/home/sliide2.jpg

LWEZA PARISH DAY 2018

SAINT JOSEPH CATHOLIC PARISH LWEZA

 

PARISH DAY - 46TH ANNIVERSARY

 

OMULAMWA:

 

"YOZEFU OMUTUUKIRIVU EKIPIMO EKITUUFU ERI ABAFUMBO N'ABAVUBUKA MU KWAGALANA N'OKUKOLA ENNYO"

 

Banna Lweza, mbalamuzizza nnyo mu linnya ly’Omukama waffe Yezu Kristu. Muyogeyoge okutuuka ku lunaku lwekifo olw’omulundi ogwa 46 bukya kikubibwawo omuteerabirwa Fr. John de Benardi (R.I.P). Tetulema era, nga tukuza olunaku luno, okwebaza Omukama ebirungi byonna byatuwadde mu bbanga eryo lyonna. Kitukakatako nno:                Okujjukira, Okujaguza ate n’okwezza Obuggya.

Mwaweebwa Yozefu Omutuukirivu Omukozi wemirimu, abawolereze, nokubasabira. Mmanyi bulungi nti nga muli wamu n’abasaserdooti bammwe, nammwe mukola butaweera okuzimba n’okunyweza Obwakabaka bwa Katonda mu Lweza ne mu Eklezia yonna okutwalira awamu. Mwebale nnyo.

Nsiima nnyo Abakristu, Abasomesa, Bassaabakristu n’abakulembeze abalala bonna abawaniridde Parish eno mu bbanga eryo lyonna. Ye ate abakulembeze abaliko kati - abaakalondebwa, ngambe ki? Mwenna mwebale nnyo. Ssirema kwongera kubakubagiza okuviibwako Rev. Fr. John Mary Vianney Mugabo eyali omukulu wekifo kino. Mmanyi bulungi nti nga ali wamu nammwe, yakikolerera nnyo era ajja kujjukirwa nnyo. Omukama amuwummuze mirembe.

Okuva ekigo kino lwekyakubibwawo, wabaddewo bingi ebituukiddwako, n’okukkiriza kugenze kukula. Mwongere nno okukunyweza n’okukuliikiriza naddala nga mubeera abeegayirizi okuviira ddala mu maka, nokujjumbira Amasacramentu. Enkulaakulana mubirabwako, nayo tugisiima, kyokka era nebisoomooza tebibuzeewo: Ebyenfuna byongedde kukaluba, abantu baffe bangi tebalina mirimu, empisa mu bangi zisiiwuuse (kyetwayitanga amayisa kati abamu gebayita empisa), obubbi nobutemu bikudde ejjembe, ate ababikola netubakubira mu ngalo,  nebasigala nga bayinaayina. Tusaana TWEZZE BUGGYA.

Nneebaza mu ngeri ey’enjawulo ekisomesa ekye Kajjansi, ekikuliddemu okujaguza okw’omwaka guno. Mwebale omukolo omulungi gwemutegese. Mwebale n’okumpita okubeera Omutambizi Omukulu. Mbaagaliza okujaguza obulungi leero negyebulijja. Mbasuubiza okwongera okubeera awamu nammwe mu nkolagana yonna nokubasabira bulijjo. “YozefuOmutuukirivuOmukoziw’emirimu,atusabire, ne Nnyaffe Maria Omubeerevu, abawambaatire”.

+ Cyprian Kizito Lwanga

Ssaabasumba

Kampala Archdiocese.

 

 

Mbalamusizza abantu ba Katonda mwenna; banna Kajjansi Sub - Parish mungeri ey’enjawulo, ate ne banna Lweza Parish okutwalira awamu. Omukama yeebale nate okutuwa omukisa n’obulamu, ne tuddamu okukungaana nga tukuza olunaku lwekikfo kyaffe kino, St. Joseph Caholic Parish Lweza : 2018.

Ku lwa Basaaserdooti bannange bwe tuweereza mu kifo kino, ne kulwa Parish Executive Committee, n’abakulembeze abalalabonna, nnyaniriza mukadde waffe Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga. Mwebaza olw’okukkiriza okujja n’abeera Omutambizi Omukulu mu Missa y’olunaku lwaffe olw’omwaka guno. Tusiima nnyo n’obuweerezaabwe obulungi, obujjudde obuvumu, obumalirivu, ko n’okulengera ewala, mu Ssaza lyonna ery’e Kampala. Ku mulundi guno, omwetoloolo gw’okutegeka olunaku lwekifo olw’omwaka guno, gwayokya St. Barbara Kajjansi Sub - Parish. Neebaza ne ssekwebaza yenna Ssaabakristu omwami Ssekwe John Bosco, n’olukiiko lwo lwonna; olukiiko olutegesi - wansi wa Jjajjange Ssemuju Charles, abakristu mwenna aba Kajjansi Sub Parish, nabalala bonna ababayambyeko mukutegeka omukolo guno. Mmanyi tebibadde byangu - okusinziira ku mbeera yensi nga bweri, ate nga muli ne ku ddimu eddene ery’okusitula n’okuzimba Eklezia “Amatiribona” eyeKisomesa. Naye mufunvubidde, mubadde bamalirivu, nga mukozesa okwagala; era mukikoze. Nsaba Omukama, buli wemutodde ajjuzewo musera.

 

Naffe nga Abasaserdoti bammwe tweyama okwongera okubatusaako obuweereza obunnyikivu, ng’Omukama bwanaaba atusobozesezza.

 Olunaku lwekifo olw’omwaka guno, tulukuza nga abakulembeze abaggya (mu Eklezia) bakalondebwa nebatandika ekisanja kyabwe ekiggya. Mbaaniriza era nembagaliza obuweereza obulungi.

 Mungeri eyenjawulo, nneebaza olukiiko olukadde, wansi wa Mr. Munduni Philip, mwebale byonna byemwakola. Mulina we mwatujja, nga Parish, era mulina we mutulese, awasanyusa.

Mungeri y’emu nnyaniriza Ssaabakristu omuggya Mr. Kamwesiga James Vincent, n’olukiiko lwo lwonna. Nsiima nnyo ebbugumu n’obumalirivu bye mutandise nabyo. Ka nsuubire nti tunaabisigaza “all through. Tuvudde wala nga Parish (Tujjukire), bannaffe ababaddeko balina webatutuusizza (Tujaguze); naffe tusimbuke awo, nga tulina wetuluubirira (Twezze Buggya) naddala nga tuzimbira ku kigambo kya Katonda mu kwegayirira n’okukola (ORA ET LABORA).

 Nga Parish yonna, twakubwa omuggo omulala omunene, mu matandika g’omwaka guno, Omwagalwa waffe, Bwanamukulu, Rev. Fr. John M. Vianney Mugabo bweyafa!!! Kyatukuba wala nnyo, naye ate nga tulina okukkiriza entegeka za Mukama. Ekirungi, bingi bye yakola twabisiima, nebimu tukyabirabako. Tumalirire okubitwala mu maaso. Wabula era mbasaba tuleme kutya nnyo nakuggwamu maanyi. Omukama Katonda buli budde nabuli mbeera agifunira abakulembeze abagijaamu Munaffe tulemenga kukoowa kumusabira - Omukama amusonyiwe byonna ebyamusobako ng’omuntu, amwanirize mubwa Kabaka bwe.

 Nneebaza Basaaserdooti bannange bwe tukola omulimu wano; Fr. Ssemakula Francis Xavier Kinene, Fr. Sserugga Remegius, Fr. Oryema Dan, ne ba Father abalala bonna abava ebweru wa Lweza nebajja okutuyambako, bannange mwebale nnyo mwebalire ddala.

Abakristu mwenna aba Lweza Parish, muyogeyoge okutuuka ku kujaguza kino okw’emyaka 46 eja Parish yaffe. Tukulidde ddala nno - tutandike kwetegekera ky’ataano (Golden Jubilee). Mbakubiriza okwongera okuwagira n’okukolagana obulungi n’abakulembeze bamwe (ku mitendera gyonna).

Tufulumizza Strategic Plan 2018 - 2021. Nsaba abakristu mwenna mugiwagire nga ebadde ebatuuseeko eyo yonna gyemuli kubanga egenderedde kwongera kunnyikiza buweereza nakusitula Parish yaffe kugituusa kumutendera kwesaana okubeera. Yozefu Omutuukirivu ng’atuwolereza, twongere okubeera abamalirivu, abeegayirizi, era abakozi.

“TUJJUKIRE, TUJAGUZE, TWEZZE BUGGYA”

Mbaagaliza okujaguza obulungi emyaka 46, ate n’okuluubirira okugenda mu maaso.

Abaagala ennyo,

Rev. Fr. John Luke M. Ssebuliba

(Ayambako ku gy’omukulu w’ekifo)

 

 

THE FOLLOWING PHOTOS ARE TAKEN FROM JULIET LUKWAGO'S POST.

Many thanks to the Photographer!

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

free joomla templatejoomla template

GOLDEN JUBILEE OF EVANGELISATION

News

Archbishop Lwanga is upset over people who work on Sunday.  It is embarrassing for people who never respect Sunday as God’s day to think of making money.
2018-08-31 07:35:33
OUR LADY OF ASSUMPTION - MITALA MARIA PARISH A Family Day  after 119 Years 25th October 1899 - 26th August 2018 Yogaayoga nnyo Our Lady of Assumption Parish Mitala Maria; osajjakudde!!!!
2018-08-28 08:53:33

   

 

 

Saint Mary's Cathedral Rubaga, commonly referred to as Rubaga Cathedral, is the parent cathedral of the Roman Catholic Archdiocese of Kampala, the oldest Roman Catholic diocese in Uganda. In 1914 the missionaries began constructing a modern cathedral at Lubaga (Rubaga). Construction was completed in 1924 and St. Mary's Cathedral Rubaga was consecrated on 31 December 1925.

2018  Kampala Archdiocese