http://www.klarchdiocese.org.ug/images/sampledata/home/slide3.jpg.jpghttp://www.klarchdiocese.org.ug/images/sampledata/home/sliide1.jpghttp://www.klarchdiocese.org.ug/images/sampledata/home/sliide2.jpg

SITUKIRAMU WEYUNE OBUSAASIZI BWA KATONDA

Situkiramu weyune Obusaasizi bwa Katonda nga obudde tebunnakuyitako

Mu budde bwa Kalema waliwo oluyimba Iwe tuyimba oluyitibwa Mu nnnaku za Kalema, akatundu no.2 kagamba bwe kati: "Bangi bafa bulijjo, Nga bali mu ntubiro, Ne batasonyiyibwa Nga bukomye obw'ensi eno"

 

Ekimu ku bigendererwa by'olunaku Iw'e Sande eno ey'Obusaasizi bwa Katonda kwe kuwa omukisa abonoonyi bonna basitukiremu okweyuna obusaasizi bwa Katonda bw'atuusa ku bantu bonna aboononyi ku lunaku luno. Yezu bwe yali alagira Sr. Faustina ku lunaku luno yagamba nti, "l\ljagala nnyo olunaku olukulu olw'Obusaasizi bwa Katonda lube ekiddukiro n'ekittuluze ky'emyoyo gyonna, era naddala eky'aboonoonyi abanaku. Ku lunaku olwo n'entobo yennyini ey'obusaasizi bwange eba nzigule.

Mbuddugula ennyanja yonna ey'ebitone ku myoyo egyo egisemberera ensulo y'obusaasizi bwange. Omwoyo  gunagenda ne gwejjusa era ne gufuna Communio Entukuvu gujja kufuna ekisonyiwo ekijjuvu eky'ebibi n'ekibonerezo waleme kubaawo mwoyo gutya kusembera wendi, ebibi byagwo ne bwe biba ebimyufu ng'omusaayi, obusaasizi bwange bungi, nga tewali ndowooza, k'ebe ya muntu oba ya Malayika eriyinza kubutegeera n'ebukomekkereza mu mirembe gyonna (No 699).

Era ku mulundi omulala, Yezu yagam­ba Sr. Faustina nti wandiika nti nga wakyaliwo obudde, batere beyune ensulo y'obusaasizi bwange: balyoke baganyulwe omusaayi n'amazzi ebyafumbukuka ku Iwammwe (No. 848). Ate evanjili ku lunaku olwa Sande ey'obusaasizi nayo egamba nti mufune Mwoyo Mutuukirivu, ebibi by'abantu bye munasonyiwanga bibasonnyiyiddwa; ebibi by'aban­tu bye mutasonyiwenga, era tibijja kubasonyiyibwanga (Jn 20:23).

Ebigambo ebyo waggulu bitulaga bulungi obukulu bw'essakramentu lya penitensia.Olw'okuba nti ffenna tuli boonoonyi, kitukakatako okweyuna olunye okwejjusa, ate n'okufuna communion. Munnange gwe abadde takyafaayo ku kwejjusa, olunaku luno lukujjukize, anti ekisonyiwo ky'Omukama eky'omuwendo ennyo kye tufuna nga tumaze okwejjusa. Jjukira Yezu yagamba Sr. Faustina nti abantu tebagenda kufuna mirembe okutuusa nga bakyukidde n'obwesige eri obusaasizi bwange (Diary 300). Tunoonye Omukama ng'akyasangika.

 

Fr. Achilles Mayanja,

Coordinator

 

 

free joomla templatejoomla template

GOLDEN JUBILEE OF EVANGELISATION

News

OBUZAALE BWE: Omugenzi Mathias Bakkabulindi Kakande yazaalibwa nga 16 April 1921 ku kyalo Kalebero mu Ggombolola ya Ssabaddu Nkondo mu ssaza lya Ssabasajja ery’e Bugangazzi era n’abatizibwa mu Kigo ky’e Bukuumi. Bakadde be ye mugenzi Batulumawo Musangogwantamu Kibirige eyeddira Engeye nnyina nga ye Madalena Nakku ow’effumbe ng’ono yali muwala wa Yisaaya Musisi e Bulenga Busiro.
2018-04-25 08:08:48
  ‎ The purpose of WEKEMBE Micro-Credit Scheme is to mobilize financial credit and resources in order to further Integrated Rural and Urban development of the poor areas in Africa. The finances shall originate from the beneficiaries’ Savings Scheme, grants from member organizations of Caritas Internationalis Confederation and others who subscribe to the promotion of integral development as a liberating process aimed at economic growth, social justice, self-reliance and witnessing of Charity and building peace in society.                   The name of the Scheme Women Empowerment with Knowledge, Entrepreneurship and Basic Managerial Skill and Education, is here called W.E.K.E.M.B.E.
2018-04-24 08:09:48

   

 

 

Saint Mary's Cathedral Rubaga, commonly referred to as Rubaga Cathedral, is the parent cathedral of the Roman Catholic Archdiocese of Kampala, the oldest Roman Catholic diocese in Uganda. In 1914 the missionaries began constructing a modern cathedral at Lubaga (Rubaga). Construction was completed in 1924 and St. Mary's Cathedral Rubaga was consecrated on 31 December 1925.

2018  Kampala Archdiocese