http://www.klarchdiocese.org.ug/images/sampledata/home/slide3.jpg.jpghttp://www.klarchdiocese.org.ug/images/sampledata/home/sliide1.jpghttp://www.klarchdiocese.org.ug/images/sampledata/home/sliide2.jpg

OKULAMAGA KUTUSEMBEZE AWALI YEZU

Abantu ba Katonda mwenna era balamazi bannange.

Mbaaniriza mu kifo kyaffe kino eky’e Bulimu, Omutuukirivu waffe era Omuwolereza w’e Ssaza lyaffe ery'e Lugazi, Pontiano Ngondwe we yazaalibwa (era bwe butaka bw'ab’e Nyonyi).

Nnyaniriza mu ngeri ey'e njawulo Abasumba, n’Abalamazi abavudde mu masaza aga Province yaffe ey’e Kampala: Kampala, Masaka, Kiyinda - Mityana, Kasana - Luweero ne Lugazi.

 

Ffe nga ab’e Lugazi twebaza Katonda kubanga omwaka guno 2017, oluwalo lwaffe okukyaza amasaza gano mu kifo kye tulamagiramu ng’e Ssaza.

Okulamaga kwaffe kuno kwe tulimu, kutukuvu era kugendererwamu okunyweza okukkiriza kwaffe. Guno mukisa gwa njawulo eri buli mulamazi yenna okwegonnomolerako enneema n’emikisa gya Katonda.

Okulamaga mu bifo ebitukuvu, nga kino eky’e Bulimu, kuteekeddwa okutusembeza okumpi n'awali Yezu. Obuvumu abajulizi baffe bwe baayolesa mu budde bw'ebiyigganyizo eby’eddiini bwava ku kumatira Yezu. N'abatume be tusomako mu Kitabo ekitukuvu baamatira Yezu; anti buli we bagendanga nga bawoza kimu "oyo gwe twalya naye ng’amaze okuzuukira mulamu". (Ebikolwa 10, 41-42).

Okulamaga okutukuvu kwandibadde kututuusa ku mmeeza ya Kommunio; olwo naffe ne tusobola okulangirira nti gwe tufuna mu Sakramentu lya Ukaristia, mulamu era atuwanguza byonna.

Okukkiriza okunywevu kwesigamye ku Ukaristia era awo we wava amaanyi gaffe mu lutalo lwe tulimu ne Sitaani.

Okulamaga kwaffe kuno okutukuvu ebeere ensibuko y’obulamu obuggya obusimbye mu Kristu Yezu.

Omukama abampeere omukisa ne Pontiano Ngondwe atusabire.

Omuweereza wammwe,

 

+ Christopher Kakooza OMUSUMBA W'ESSAZA LY E LUGAZI

free joomla templatejoomla template

GOLDEN JUBILEE OF EVANGELISATION

News

Archbishop Lwanga is upset over people who work on Sunday.  It is embarrassing for people who never respect Sunday as God’s day to think of making money.
2018-08-31 07:35:33
OUR LADY OF ASSUMPTION - MITALA MARIA PARISH A Family Day  after 119 Years 25th October 1899 - 26th August 2018 Yogaayoga nnyo Our Lady of Assumption Parish Mitala Maria; osajjakudde!!!!
2018-08-28 08:53:33

   

 

 

Saint Mary's Cathedral Rubaga, commonly referred to as Rubaga Cathedral, is the parent cathedral of the Roman Catholic Archdiocese of Kampala, the oldest Roman Catholic diocese in Uganda. In 1914 the missionaries began constructing a modern cathedral at Lubaga (Rubaga). Construction was completed in 1924 and St. Mary's Cathedral Rubaga was consecrated on 31 December 1925.

2018  Kampala Archdiocese