Kampala Archdiocese

Welcome to the Official Website of Kampala Archdiocese

As you visit our website, you will understand better the scope of our mission to live and proclaim the Gospel of Our Lord Jesus Christ through Grassroot Evangelization.

Add Your Heading Text Here

Previous
Next

OBUBAKA BWA SSAABASUMBA PAUL SSEMOGERERE NGA TUKUZA OLUNAKU OLW’OKUBUNYA EDDIINI MU MAWANGA SUNDAY 22 OCTOBER 2023.

Abantu ba Katonda, mwenna mu Ssaza lino ekkulu ery’e Kampala.

Mbalamusizza nnyo mu linnya ly’Omukama era Omulokozi waffe, Yezu Kristu. Mbategeeza nti mu eklezia Katolika omwezi gwa October gukuzibwa ng’omwezi gwa Rosari kyokka ate era tugukuza ng’omwezi gw’obutume n’okulangirira evangiri.

Buli mwaka, mu mwezi guno ogw’ekkumi tukuza SUNDAY EY’OKUBUNYISA EDDIINI MU MAWANGA. Ku lunaku luno twegatta ku Bakristu bannaffe mu nsi yonna okwoleka obumu bwaffe mu mulimu ogw’okulangirira evanjiri. Mu mwezi guno ogw’obutume, Kitaffe Omutukuvu Paapa Francis asomooza buli mubatize yenna okujjukira nti; “Ffenna ababatize tuli batume ba Kristu bulijjo.”

Mu mwezi guno ogw’obutume, Nnyaffe Eklezia atulaga obwetaavu obuliwo mu mulimu ogw’okuyigiriza eddiini era n’akowoola ababatize ffenna okuzuukusa obutume bwaffe naddala nga tuyigiriza evanjiri mu budde buno obufugibwa ennyo “technologiya” n’emikutu n’emikutu gimugattabantu(Social media).

Mu mwezi guno ogw’obutume omulamwa Kitaffe Paapa Francis gw’atuwadde gutujjukiza obuvunaanyizibwa bwaffe okujulira obulamu bwa Kristu, okulangirira amawulire amalungi ag’evanjiri n’okuwa essuubi abantu ba Katonda mu Ssaza ekkulu ery’e Kampala.

Mu mwezi gw’obutume ne Sunday ey’okubunyisa eddiini mu mawanga gonna, tufuna omukisa okwetaba mu butume bwa Mukama waffe Yezu Kristu naffe ne tusobola okukula mu butume obwo mu bulamu bwaffe.

Omutukuvu Paapa Francis atuwadde omulamwa: “Emitima egibugujja evanjiri, gyettanira olugendo lw’obutume.” Omulamwa guno agusimbudde mu vanjiri ya Lukka mu mboozi y’abatume ababiri abaali bagenda Emmaus, (Cf. Luka 24: 13-35) nga bali mu nnaku, basobeddwa olwokufa kw’Omukama Yezu. Naye ensisinkano yaabwe ne Kristu omuzukivu bweyabasanga n’abayigiriza ekigambo ate era ne mu kumenya omugaati kwasisimula mu bo amaanyi n’okubugujja n’essanyu ne baddayo e Yeruzalemu ne balangirira nti, “ddala Kristu azuukidde.”

Ku Sunday ey’okubunyisa eddiini mu mawanga gonna, twegatta ku Kitaffe Paapa Francis okuwagira omulimu gw’obutume. Nga bwe twegayirira n’okwanukula okuyitibwa okw’enjawulo, twetaba mu bikujjuko ebyo ebigenda okubaawo mu bifo byaffe ate ne mu masomero ne mu Ssaza lyonna awamu. Nkowoola mwenna abantu ba Katonda musabire omulimu gw’okuyigiriza evanjiri ate muguwagire nga muwaayo ebintu ebikalu eby’okuyamba abali mu bwetaavu mu Eklezia, n’okuwaayo ssente zetuwereza mu nsawo ya Paapa ewanirira emirimu gino mu nsi yonna. Bwe tutyo ffenna awamu tubeere balangirizi b’amawulire amalungi ag’evanjiri.

Thereza Omutuukirivu omuwolereza w’emirimu gy’obutume, tusabire!.

Nze owammwe ddala mu Kristu,

†Paulo Ssemogerere

SSAABASUMBA WA KAMPALA

Our History

Lubaga Cathedral - Old Archive Photo

The Roman Catholic Church in Uganda is part of the worldwide Roman Catholic Church, under the spiritual leadership of the Pope in Rome. There are an estimated 13,406,764 million Catholics – about 39.3% of the total population of Uganda. The Roman Catholic Church in Uganda is comprised of four Ecclesiastical Provinces:

  • Kampala Ecclesiastical Province comprised of Kampala Archdiocese and the Dioceses of Kasana-Luweero, Kiyinda-Mityana, Lugazi and Masaka.  
  • Gulu Ecclesiastical Province comprised of Gulu Archdiocese and the Dioceses of Arua, Lira and Nebbi… Read More

Events

The parish is the core of Catholic life in our local communities. In every parish of our Archdiocese, the impact of the Covid-19 pandemic has been particularly acute. Our collective mission to spread the Gospel is challenging without a financial lifeline. It therefore important that our parishes and priests receive the offertory support they need to remain operational through this time without in-person weekly Masses.
You can support a parish today by clicking the donate button below. Thank you for your hopeful witness of the Gospel as you bring in word and action God’s invitation to all those suffering around us.

Find a local parish or school

Homilies

Which Child Am I?

“Which child am I?” In the various vocations, duties and responsibilities that God has entrusted to us, we daily need to re-examine how dutiful we are in the vineyard of the Lord.

Read More »

Will You Also Betray Jesus?

The worst part of the betrayal was that Jesus was betrayed by one of His own apostles. This hits hardest when Jesus Christ Himself says, “But see, the one who betrays me is with me, and his hand is on the table.” (Luke 22:21)

Read More »

Who Is Jesus Christ To You?

This is the time for us, for each one of us to look deeply into his or her life and give an answer to the questions of Jesus Christ most especially the second question, “And you, who do you say that I am?” (Luke 9:20).

Read More »

Why Do You Love Jesus? Why Do I Love Jesus?

Why should we pray for purity of intention? Someone may do something good (on the outside it is good) but when the intention, the heart with which it is done is not good. This is the experience of Herod in the Gospel today.

Read More »